Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe —Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe —Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo

LWAKI KIKULU:

Obubaka obuba mu vidiyo butuuka mangu ku mutima gw’omuntu kubanga aba alaba ng’eno bw’awuliriza. Ate era kimwanguyira okussaayo omwoyo n’okujjukira ebyo by’aba alabye. Yakuwa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kuyigiriza ng’akozesa ebintu ebirabwako.—Bik 10:9-16; Kub 1:1.

Vidiyo erina omutwe Katonda Alina Erinnya?, Ani Yawandiika Bayibuli?, ne Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu? zikwata ku ebyo ebiri mu ssomo 2 ne 3 mu brocuwa Amawulire Amalungi. Vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?, ne Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka? zikubiriza abantu okuyiga naffe Bayibuli oba okujja mu nkuŋŋaana zaffe. Ezimu ku vidiyo zaffe empanvu nazo tusobola okuzikozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.—km 5/13 3.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Wanula vidiyo gy’oyagala okulaga omuntu

  • Teekateeka ekibuuzo kimu oba bibiri ebiddibwamu mu vidiyo

  • Mulabire wamu vidiyo

  • Mukubaganye ebirowoozo ku nsonga enkulu

OMWEZI GUNO GEZAAKO KINO:

  • Laga omuntu code eri emabega ku tulakiti zaffe etwala omuntu awali vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?

  • Laga omuntu vidiyo Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu? Oluvannyuma omulage essomo 3 erya brocuwa Amawulire Amalungi