Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjuuni 13-19

ZABBULI 38-44

Jjuuni 13-19
  • Oluyimba 4 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Yakuwa Alabirira Abalwadde”: (Ddak. 10)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Zb 39:1, 2—Tuyinza tutya okufuga olulimi lwaffe? (w09 5/15 4 ¶5; w06 6/1 32 ¶10)

    • Zb 41:9—Ebyatuuka ku Dawudi ebyogerwako mu lunyiriri luno byatuuka bitya ne ku Yesu? (w11 8/15 13 ¶5; w08 9/15 5 ¶11)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 42:6–43:5

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) g16.3 omutwe oguli kungulu

  • Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) g16.3 omutwe oguli kungulu

  • Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) fg essomo 2 ¶4-5—Ng’ofundikira mutegeeze nti tulina vidiyo, Katonda Alina Erinnya? era omulagirire ne w’ayinza okugisanga ku mukutu jw.org/lg.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 128

  • Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo Beera Mukwano gwa Yakuwa—Kuumira Amaaso Go ku Mpeera! (Oluyimba 24). (Genda ku jw.org/lg ENJIRIGIRIZA ZA BAYIBULI > ABAANA.) Oluvannyuma yita abaana abato ku pulatifoomu obabuuze ebibuuzo bino: Nkyukakyuka ki ezinaabaawo mu Lusuku lwa Katonda? Mikisa ki gye weesunga? Okufumiitiriza ku ssuubi ly’olina kiyinza kitya okukuyamba okugumiikiriza?— 2Ko 4:18.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia sul. 17 ¶14-22, eby’okulowoozaako ku lup. 152

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 36 n’Okusaba