“Omugugu Gwo Gutikke Yakuwa”
Dawudi yayolekagana n’ebigezo bingi mu bulamu bwe. Mu kiseera we yawandiikira Zabbuli 55, yali ayise mu bintu nga . . .
-
Okunyoomebwa
-
Okuyigganyizibwa
-
Omuntu Ow’omunda Okumulumiriza
-
Ebizibu mu Maka Ge
-
Obulwadde
-
Okuliibwamu Olukwe
Wadde ng’ebizibu bye yalina byali bya maanyi nnyo, Dawudi yasobola okubigumira. Gano ge magezi ge yaluŋŋamizibwa okuwa omuntu yenna ayinza okuba mu mbeera ng’eyiye: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa.”
Tuyinza tutya okukolera ku magezi ago leero?
-
Bw’oba n’ekizibu oba ekintu kyonna ekikweraliikiriza weeyabize Yakuwa
-
Noonya obulagirizi okuva mu Bayibuli ne mu kibiina kya Yakuwa
-
Kola ky’onna ky’osobola okugonjoola ekizibu kyo ng’okolera ku misingi gya Bayibuli