Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa

Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa

Abazadde abaagala Yakuwa baagala nnyo abaana baabwe bafuuke abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa, nga babayigiriza ebimukwatako okuviira ddala mu buto. (Ma 6:7; Nge 22:6) Wadde ng’ekyo kyetaagisa okufuba ennyo, ebivaamu biba birungi.​—3Yo 4.

Abazadde balina bingi bye bayinza okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu. ‘Buli mwaka baagendanga e Yerusaalemi ku mbaga ey’Okuyitako,’ wadde ng’ekyo kyali kyetaagisa okufuba ennyo. (Luk 2:41) Baakulembezanga ebyetaago by’ab’omu maka gaabwe eby’eby’omwoyo. Mu ngeri y’emu, abazadde basobola okuyamba abaana baabwe nga bakozesa buli kakisa okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa, era nga babateerawo ekyokulabirako ekirungi.​—Zb 127:3-5.

MULABE VIDIYO, BAAKOZESA BULI KAKISA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Schiller baakulembeza batya eby’omwoyo nga bakuza abaana baabwe?

  • Lwaki abazadde basaanidde okuyigiriza, okuwabula, n’okukangavvula buli mwana mu ngeri ya njawulo?

  • Abazadde bayinza batya okuteekateeka abaana baabwe basobole okwaŋŋanga ebiyinza okugezesa okukkiriza kwabwe?

  • Ku bintu ebituweebwa ekibiina kya Yakuwa, biruwa by’okozesa okuyamba abaana bo okukulaakulana mu by’omwoyo?

Mukulembeze eby’omwoyo mu maka gammwe