Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi

Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi

LWAKI KIKULU: Okufaananako ebintu ebirala, emikutu emigattabantu gisobola okuba egy’omugaso, naye era gisobola okuba egy’obulabe. Abakristaayo abamu basalawo obutagikozesa. Ate abalala bagikozesa okuwuliziganya n’ab’eŋŋanda zaabwe awamu ne mikwano gyabwe. Kyokka, Sitaani ayagala tukozese bubi emikutu egyo, kiviireko enkolagana yaffe ne Yakuwa okwonooneka. Okufaananako Yesu, naffe tusaanidde okukozesa emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda ne tusobola okulaba akabi era ne tukeewala.​—Luk 4:4, 8, 12.

BYE TUSAANIDDE OKWEWALA:

  • Okumala ebiseera ebingi ku mikutu emigattabantu. Bwe tumala ebiseera ebingi ku mikutu egyo, kiyinza okutulemesa okufuna obudde obwetaagisa okukola ebintu eby’omwoyo

    Emisingi: Bef 5:15, 16; Baf 1:10

  • Okulaba oba okusoma ebintu ebitasaana. Okulaba oba okusoma ebintu ng’ebyo kiyinza okutuviirako okufuna omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, oba okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ate era, okusoma ebintu bya bakyewaggula kiyinza okunafuya okukkiriza kwaffe

    Emisingi: Mat 5:28; Baf 4:8

  • Okuteekako obubaka oba ebifaananyi ebitasaana. Olw’okuba omutima mulimba, guyinza okuleetera omuntu okuteeka ku mikutu egyo ebigambo oba ebifaananyi ebitasaana. Ekyo kiyinza okwonoona erinnya lye, oba okumuviirako okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa

    Emisingi: Bar 14:13; Bef 4:29

MULABE VIDIYO, EMIKUTU EMIGATTABANTU GIKOZESE MU NGERI EY’AMAGEZI, ERA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU NGERI Y’OKWEWALAMU EMBEERA ZINO: