Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 4-5

Ziyiza Ebikemo nga Yesu Bwe Yakola

Ziyiza Ebikemo nga Yesu Bwe Yakola

Sitaani agezaako okutuggya ku Yakuwa ng’akozesa ebintu emitima gyaffe bye gyegomba. Akozesa obukodyo bwa njawulo, okusinziira ku mbeera omuntu gy’abaamu ne by’asinga okwagala.

Kyakulwanyisa ki eky’amaanyi Yesu kye yakozesa okuziyiza ebikemo eby’emirundi esatu Sitaani by’atera okukozesa? (Beb 4:12; 1Yo 2:15, 16) Nnyinza ntya okumukoppa?

  • 4:1-4

    “Okwegomba kw’omubiri”

  • 4:5-8

    “Okwegomba kw’amaaso”

  • 4:9-12

    “Okweraga”