OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Tambulira mu Bigere bya Kristo
Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kye tuyinza okukoppa, nnaddala nga tuyigganyizibwa. (1Pe 2:21-23) Wadde nga yavumibwa, teyeesasuza; ne bwe yali ng’abonyaabonyezebwa. (Mak 15:29-32) Kiki ekyamuyamba okugumiikiriza? Yali amaliridde okukola Yakuwa by’ayagala. (Yok 6:38) Ate era, ebirowoozo bye yabimalira ku ‘ssanyu eryateekebwa mu maaso ge.’—Beb 12:2.
Twandyeyisizza tutya nga tuyigganyizibwa olw’okuweereza Yakuwa? Abakristaayo ab’amazima beewala okwesasuza. (Bar 12:14, 17) Bwe tugumiikiriza nga tubonaabona nga Kristo bwe yakola, tujja kuba basanyufu kubanga tuba tukimanyi nti tusanyusa Yakuwa.—Mat 5:10-12; 1Pe 4:12-14.
MULABE VIDIYO, ERINNYA LYA YAKUWA LYE LISINGA OBUKULU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Mwannyinaffe Pötzinger * yakozesa atya obulungi ebiseera bye, bwe yali asibiddwa mu kkomera?
-
Mbeera ki Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Pötzinger gye baayitamu nga bali mu nkambi y’abasibe?
-
Kiki ekyabayamba okugumira embeera eyo?
^ lup. 6 Erinnya lino era liwandiikibwa nti Poetzinger.