Ab’oluganda baliira wamu ekijjulo mu Myanmar

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Jjuuni 2019

Bye Tuyinza Okwogerako

Bye tuyinza okwogerako ebikwata ku ngeri gye tuyinza okuyita mu nnaku ez’enkomerero.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

‘Ebintu eby’Akabonero’ Ebirina Amakulu Gye Tuli

Bakazi ba Ibulayimu Saala ne Agali bakiikirira ki? Tuyinza tutya okuganyulwa mu ndagaano empya?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Engeri Yakuwa gy’Addukanyaamu Ebintu

Engeri ya Yakuwa ey’okuddukanyaamu ebintu kye ki era oyinza otya okugiwagira?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ganyulwa mu Kwesomesa

Biki ebiyinza okukuyamba okulongoosa mu ngeri gye weesomesaamu?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Mwambale eby’Okulwanyisa Byonna Ebiva eri Katonda”

Abakristaayo basirikale. Wandiika buli kya kulwanyisa eky’omwoyo ne kye kikiikirira.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Anaakitwala Atya?

Oyinza otya okweyongera okutegeera Yakuwa by’ayagala n’okubikolerako?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Temweraliikiriranga Kintu Kyonna”

Ebintu ebitweraliikiriza bingi nnyo mu nnaku zino ez’enkomerero. Biki ebiyinza okutuyamba obuteeraliikirira nnyo?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Londa n’Amagezi eby’Okwesanyusaamu

Oyinza otya okusanyusa Katonda nga weesanyusaamu?