Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ganyulwa mu Kwesomesa

Ganyulwa mu Kwesomesa

LWAKI KIKULU: Okwesomesa kutuyamba “okutegeerera ddala obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba” bw’amazima. (Bef 3:18) Ate era kutuyamba okusigala nga tetuliiko kya kunenyezebwa oba kamogo mu nsi eno embi era ‘n’okunywerera ku kigambo eky’obulamu.’ (Baf 2:15, 16) Okwesomesa kutusobozesa okulonda ebintu eby’okusoma ebitukwatako kinnoomu. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli n’okwesomesa?

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Saza ku nnyiriri era obeeko by’owandiika mu Bayibuli gy’okozesa okwesomesa, k’ebeere nga ya mpapula oba ng’eri ku ssimu

  • Bw’oba osoma Ekigambo kya Katonda weebuuze ebibuuzo bino: ‘Ani? Kiki? Ddi? Wa? Lwaki? Mu ngeri ki?’

  • Noonyereza. Ng’okozesa ebintu bye tukozesa okunoonyereza, noonyereza ku nsonga gy’osomako oba ku lunyiriri lw’osomye

  • Fumiitiriza ku ebyo by’osomye olabe engeri gye bikukwatako

  • By’oyize bikolereko mu bulamu bwo.​—Luk 6:47, 48

MULABE VIDIYO, “NYWERERA KU KIGAMBO”​—NGA WEESOMESA BULUNGI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ab’oluganda abamu baganyuddwa batya mu kwesomesa?

  • Lwaki tusaanidde okusooka okusaba nga tetunneesomesa?

  • Kiki ekisobola okutuyamba okutegeera obulungi bye tuba tusomye?

  • Biki bye tuyinza okukozesa okulamba ku bye tusomye mu Bayibuli?

  • Lwaki kikulu nnyo okufumiitiriza bwe tuba tusoma Bayibuli?

  • Bye tuyize tusaanidde kubikozesa tutya?

“Amateeka go nga ngaagala nnyo! Ngafumiitirizaako okuzibya obudde.”​—Zb 119:97