Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Anaakitwala Atya?

Yakuwa Anaakitwala Atya?

Nga tetunnabaako kye tusalawo ku nsonga yonna k’ebe nnene oba ntono, tusooka kwebuuza nti ‘Yakuwa anaakitwala atya?’ Wadde nga tetuyinza kumanya byonna Yakuwa by’alowooza, by’atubuulira mu Kigambo kye bitumala “okukola buli mulimu omulungi.” (2Ti 3:16, 17; Bar 11:33, 34) Yesu yategeeranga ebyo Yakuwa by’ayagala era bye yakolanga. (Yok 4:34) Ka bulijjo tukoppe Yesu nga tusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa.​—Yok 8:28, 29; Bef 5:15-17.

MULABE VIDIYO, MUTEGEERENGA YAKUWA KY’AYAGALA (LEV 19:18), OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki tusaanidde okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwaffe?

  • Misingi ki gye tusaanidde okulowoozaako nga tulonda ennyimba ez’okuwuliriza?

  • Misingi ki gye tusaanidde okulowoozaako nga tulonda olugoye olw’okwambala n’engeri gye tuneekolako?

  • Mbeera ki endala mwe tusaanidde okugoberera emisingi gya Bayibuli?

  • Tuyinza tutya okweyongera okutegeera Yakuwa ky’ayagala?

Engeri gye nsalawo eraga ki ku nkolagana yange ne Yakuwa?