Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Londa n’Amagezi eby’Okwesanyusaamu

Londa n’Amagezi eby’Okwesanyusaamu

Lwaki tusaanidde okwegendereza nga tulonda eby’okwesanyusaamu? Kubanga ebyo bye tulaba mu firimu, bye tuwuliriza mu nnyimba, bye tulaba ku mikutu gya Intaneeti, bye tusoma mu bitabo, oba emizannyo gya kompyuta gye tuzannya, bisigala mu birowoozo byaffe. Ebyo bye tulondawo birina kye bikola ku nneeyisa yaffe. Eky’ennaku, eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi ebiriwo leero birimu ebintu Yakuwa by’akyawa. (Zb 11:5; Bag 5:19-21) N’olw’ensonga eyo, Bayibuli etukubiriza okulowoozanga ku bintu ebiweesa Yakuwa ekitiibwa.​—Baf 4:8.

MULABE VIDIYO, BYA KWESANYUSAAMU KI BYE MBA NNONDAWO? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Emizannyo gy’Abaruumi egy’edda gifaananako gitya eby’okwesanyusaamu ebimu ebiriwo leero?

  • Tuyinza tutya okuyamba abato mu kibiina okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi?

  • Ebiri mu Abaruumi 12:9 biyinza bitya okutuyamba nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

  • Byakwesanyusaamu ki ebisaana ebiri mu kitundu kyammwe?