OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri gye Tuyinza Okukozesaamu Ebiri mu Kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako
Okuva mu Jjanwali 2018, Akatabo K’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kabaddengamu ekitundu, Bye Tuyinza Okwogerako ku lupapula olusooka. Tuyinza tutya okukozesa ebiri mu kitundu ekyo?
Bw’Oba Owa Ekyokulabirako: Osaanidde okukozesa ekibuuzo, ekyawandiikibwa, n’eky’okulekawo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Naye ekyo tekitegeeza nti olina okukozesa ebigambo byennyini ebiri mu vidiyo ey’ekyokulabirako. Oyinza okukozesa embeera endala, ennyanjula endala, oba okunnyonnyola mu ngeri endala. Ate era osobola n’okugaba akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli wadde nga tekiragiddwa mu bulagirizi obukwata ku kitundu ekikuweereddwa.
Bw’Oba mu Buweereza: Ekitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, kyategekebwa okusobola okutuyamba okumanya ensonga ze tuyinza okwogerako mu buweereza. Singa omuntu ayagala okumanya ebisingawo, osobola okweyongera okunyumya naye oboolyawo ng’okozesa ebiri mu kitundu ky’okuddiŋŋana. Oyinza okukyusakyusa mu ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako oba okukozesa ennyanjula endala. Abantu b’omu kitundu kyo bayinza okukwatibwako bw’okozesa ennyanjula y’omwezi oguwedde oba ekyawandiikibwa ekirala. Abantu b’omu kitundu kyo baagala nnyo okwogera ku kintu ekyakabaawo mu kitundu kyabwe oba ekyakafulumira mu mawulire? K’ebe ngeri ki gy’osalawo okukozesaamu ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, osaanidde okuba n’ekiruubirirwa ‘eky’okukola ebintu byonna olw’amawulire amalungi osobole okugabuulirako abalala.’—1Ko 9:22, 23.