OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Maaki 2016
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Engeri gye tuyinza okugaba Omunaala gw’Omukuumi n’akapapula akayita abantu ku Kijjukizo ekya 2016. Kozesa ebyokulabirako ebyo osobola okutegeka ennyanjula zo.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Eseza Yali Ayagala Nnyo Yakuwa n’Abantu Be
Yawaayo obulamu bwe n’ayambako Moluddekaayi okukola eteeka eryandiyambye Abayudaaya obutazikirizibwa. (Eseza 6-
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe— Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini
Kozesa amagezi ago osobole okutegeka ennyanjula zo ez’okugaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yaniriza Abagenyi Baffe
Tuyinza tutya okwaniriza abagenyi n’abo abaggwaamu amaanyi abanaaba bazze ku Kijjukizo?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yobu Yakuuma Obugolokofu Bwe ng’Agezesebwa
Yakiraga nti Yakuwa ye yali asinga obukulu mu bulamu bwe. (Yobu 1-5)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yobu Ayoleka Ennyiike ey’Amaanyi gy’Alina
Ennaku ey’amaanyi n’okuggwaamu amaanyi byaleetea Yobu okufuna endowooza enkyamu, naye okwagala kwe yalina eri Yakuwa tekwaddirira. (Yobu 6-
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yobu Yali Akkiririza mu Kuzuukira
Yali akimanyi nti Katonda asobola okumuzuukiza n’addamu okuba omulamu ng’omuti bwe guloka. (Yobu 11-
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okuzuukira —Kusoboka Okuyitira mu Kinunulo
Ekirabo kya Yakuwa eky’ekinunulo kijja kusobozesa okuzuukira okubaawo. Mu kifo ky’emikolo egy’okuziika, tujja kwaniriza abaagalwa baffe abanaazuukizibwa.