Maaki 7- 13
ESEZA 6-10
Oluyimba 131 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Eseza Yali Ayagala Nnyo Yakuwa n’Abantu Be”: (Ddak. 10)
Es 8:3, 4
—Wadde nga Eseza yalina obukuumi, yawaayo obulamu bwe ku lw’abalala (ia 143 ¶24-25) Es 8:5
—Eseza yakozesa amagezi ng’ayogera ne Akaswero (w06 3/1 7 ¶8) Es 8:17
—Abantu bangi ab’amawanga amalala baakyuka ne batandika okweyita Abayudaaya (w06 3/1 7 ¶3)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Es 8:1, 2
—Obunnabbi Yakobo bwe yawa ng’anaatera okufa obukwata ku Benyamini ‘okugabanya omunyago akawungeezi,’ bwatuukirizibwa butya? (ia 142 akasanduuko) Es 9:10, 15, 16
—Wadde ng’Abayudaaya baali bakkiriziddwa okunyaga ebintu by’abalabe baabwe, lwaki tebaakikola? (w06 3/1 7 ¶4) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: Es 8:1-9 (Ddak. 4 oba obutawera)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era muzikubaganyeeko ebirowoozo. Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe
—Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini.”
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 118
“Yaniriza Abagenyi Baffe”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ku birungi ebyavaamu bwe baayaniriza abagenyi abajja ku mukolo gw’Ekijjukizo omwaka oguwedde. Laga ekyokulabirako ekyaliwo ddala.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 10 ¶12-21, eby’okulowoozaako ku lup. 91 (Ddak. 30)
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 147 n’Okusaba