Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 6-10

Eseza Yali Ayagala Nnyo Yakuwa n’Abantu Be

Eseza Yali Ayagala Nnyo Yakuwa n’Abantu Be

Eseza yali muvumu, era yeewaayo okulwanirira abantu ba Yakuwa

8:3-5, 9

  • Eseza ne Moluddekaayi baalina obukuumi. Naye ekiragiro kya Kamani eky’okutta Abayudaaya bonna kumpi kyali kituuse buli wamu mu ttwale ly’obwakabaka

  • Eseza yaddamu okuteeka obulamu bwe mu kabi n’agenda eri kabaka nga tayitiddwa. Yanakuwalira nnyo abantu be era n’asaba kabaka asazeemu ekiragiro ekyali kiyisiddwa

  • Etteeka eryabanga liyisiddwa mu linnya lya kabaka lyali terisobola kusazibwamu. N’olwekyo kabaka yawa Eseza ne Moluddekaayi obuyinza okuyisa etteeka eddala

Yakuwa yasobozesa abantu okuwangula abalabe baabwe

8:10-14, 17

  • Ekiragiro eky’okubiri ekyali kikkiriza Abayudaaya okwerwanako kyayisibwa

  • Ababaka baatumibwa mangu mu buli kanyomero k’obwakabaka, era Abayudaaya ne beetegekera olutalo

  • Abantu bangi baalaba nga Katonda alwanirira abantu be era ne batandika okweyita Abayudaaya