Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini

LWAKI KIKULU: Wadde nga tuweebwa ennyanjula ze tuyinza okukozesa, tekitegeeza nti tulina kuzikwata bukusu. Kozesa ebigambo byo. Oyinza okukozesa ennyanjula endala oba okwogera ku nsonga endala eyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyo. Bw’omala okusoma magazini, era n’olaba ennyanjula ezituweereddwa awamu ne vidiyo eziraga ennyanjula ezo, oyinza okukolera ku magezi gano wammanga okutegeka ennyanjula yo.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

Weebuuze, ‘Nkozese emu ku nnyanjula ezituweereddwa?’

YEE

  • Tegeka ebigambo by’onooyogera. Bw’omala okubuuza omuntu, tuukira ku nsonga. (Ng’ekyokulabirako: “Nkukyalidde kubanga . . . “)

  • Lowooza ku ngeri gy’onookwataganyaamu ekibuuzo, ekyawandiikibwa, ne magazini gy’ogenda okumuwa. (Ng’ekyokulabirako: Ng’ogenda okumusomera ekyawandiikibwa oyinza okumugamba nti, “Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kiri wano.”)

NEDDA

  • Londa omutwe mu magazini ogujja okusikiriza abantu b’omu kitundu ky’obuuliramu

  • Lowooza ku kibuuzo ky’onoobuuza omuntu era ekitaamukaluubirire kuddamu. (Ng’ekyokulabirako: Ekibuuzo ekiri ku lupapula 2 olwa magazini.)

  • Londa ekyawandiikibwa ky’onoosoma. (Bw’oba ogenda kugaba Awake! osobola okusalawo okusoma ekyawandiikibwa oba obutakisoma, okuva bwe kiri nti magazini eno etegebwa okuyamba abo abatamanyi nnyo Bayibuli era abayinza okuba nga tebaagala bya ddiini.)

  • Tegekayo ebigambo ebitonotono by’onookozesa okunnyonnyola omuntu engeri gy’anaaganyulwa mu magazini

KYONNA KY’OBA OSAZEEWO

  • Baako by’owandiika ebinaakuyamba ng’omuddidde

  • Tegeka ekibuuzo ky’onoddamu ng’ozzeeyo omulundi omulala