Maaki 14- 20
YOBU 1-5
Oluyimba 89 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yobu Yakuuma Obugolokofu Bwe ng’Agesebwa”: (Ddak. 10)
[Musseeko vidiyo, Okwanjula Ekitabo kya Yobu.]
Yobu 1:8-11
—Sitaani yabuusabuusa ekigendererwa Yobu kye yalina mu kuweereza Katonda (w11 5/15 17 ¶6-8; w09 4/15 3 ¶3-4) Yobu 2:2-5
—Sitaani yabuusabuusa obugolokofu bw’abantu bonna (w09 4/15 4 ¶6)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Yobu 1:6; 2:1
—Baani abakkirizibwanga okugenda mu maaso ga Yakuwa? (w06 4/1 29 ¶6) Yobu 4:7, 18, 19
—Ndowooza ki enkyamu Erifaazi gye yalina? (w14 3/15 13 ¶3; w05-E 9/15 26 ¶4-5; w95-E 2/15 27 ¶5-6) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: Yobu 4:1-21 (Ddak. 4 oba obutawera)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: wp16.2 omutwe oguli kungulu
—Lekawo kye munaayogerako ng’ozzeeyo. (Ddak. 2 oba obutawera) Ng’Ozzeeyo: wp16.2 omutwe oguli kungulu
—Lekawo kye munaayogerako ng’ozzeeyo. (Ddak. 4 oba obutawera) Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: fg essomo 2 ¶2-3 (Ddak. 6 oba obutawera)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 88
Ziyiza Okupikirizibwa!: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo erina omutwe, Ziyiza Okupikirizibwa! eri ku jw.org. (Genda ku jw.org/lg ku EBITABO > VIDIYO.) Oluvannyuma, buuza ebibuuzo bino: Kupikrizibwa kwa ngeri ki abaana kwe bafuna ku ssomero? Bayinza batya okukolera ku musingi oguli mu Okuva 23:2? Bintu ki ebina bye basobola okukola okuziyiza okupikirizibwa ne basigala nga bakuumye obugolokofu bwabwe? Saba abavubuka boogere ku birungi ebyavaamu bwe baaziyiza okupikirizibwa.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 11 ¶1-11 (Ddak. 30)
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 149 n’Okusaba