Yobu Yakuuma Obugolokofu Bwe ng’Agezesebwa
Yobu yali abeera mu nsi ya Uzzi mu kiseera Abayisirayiri we baabeerera abaddu e Misiri. Wadde nga Yobu teyali Muyisirayiri, yali asinza Yakuwa era yali mwesigwa. Amaka ge gaalimu abantu bangi, yali mugagga nnyo, era abantu baamussangamu nnyo ekitiibwa. Yali amanyiddwa ng’omuwi w’amagezi omulungi era omulamuzi omwenkanya. Yayambanga abaavu n’abatalina mwasirizi. Mazima ddala Yobu yali musajja mugolokofu.
Ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwa Yobu kwe kukola Yakuwa by’ayagala
-
Sitaani naye yakiraba nti Yobu yali musajja mugolokofu. Teyagamba nti Yobu teyali mwesigwa eri Yakuwa; wabula, yabuusabuusa ekigendererwa kya Yobu
-
Sitaani yagamba nti Yobu yali aweereza Yakuwa olw’ekigendererwa ekikyamu
-
Okusola okulaga nti Sitaani bye yali ayogera bya bulimba, Yakuwa yaleka Sitaani okulumba Yobu. Sitaani yaleetera Yobu ebizibu eby’okumukumu
-
Yobu yakuuma obugolokofu bwe, naye oluvannyuma Sitaani yabuusabuusa obugolokofu bw’abantu bonna
-
Yobu teyayonoona, era teyanenya Katonda