Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 6-10

Yobu Ayoleka Ennyiike ey’Amaanyi gy’Alina

Yobu Ayoleka Ennyiike ey’Amaanyi gy’Alina

Wadde nga Yobu yalina ennaku ya maanyi nnyo olw’okufiirwa abaana be era nga yali mulwadde nnyo, yasigala mwesigwa. Kyokka Sitaani yagezaako okukozesa embeeera eyo okuleetera Yobu okusuula obugolokofu bwe. “Mikwano” gya Yobu abasatu bwe baatuuka, baasooka ne baba ng’abamusaasidde ennyo. Baamala ennaku musanvu nga batudde ne Yobu naye nga basirise busirisi. Tebaamugambayo wadde ekigambo kimu ekimubudaabuda. Bwe baatandika okwogera naye baamunenya era ne bamusalira omusango.

Yobu yasigala mwesigwa eri Yakuwa wadde ne mu mbeera enzibu ennyo

6:3; 7:16; 9:20-22; 10:1, 12

  • Obulumi obungi Yobu bwe yalimu bwamuleetera okufuna endowooza enkyamu. Mu butamanya, yagamba nti ne bwe yandisigadde nga mwesigwa, Katonda yali takitwala ng’ekikulu

  • Olw’okuba Yobu yali aweddemu amaanyi, teyalowooza nako nti wayinza okubaayo ensonga endala eyali emuviirako okubonaabona

  • Wadde nga yali mu nnaku ya maanyi, Yobu yeeyongera okubuulira mikwano gye abaali bamunenya ebintu ebirungi ebikwata ku Yakuwa