Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okuzuukira—Kusoboka Okuyitira mu Kinunulo

Okuzuukira—Kusoboka Okuyitira mu Kinunulo

Omukolo gw’Ekijjukizo gutuwa akakisa okufumiitiriza ku mikisa gye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso olw’okuba Yesu yatufiirira. Ogumu ku mikisa egyo kwe kuzuukira. Yakuwa yatonda abantu nga si ba kufa. Eyo ye nsonga lwaki tuwulira ennaku ey’amaanyi bwe tufiirwa. (1Ko 15:26) Yesu yawulira ennaku bwe yalaba ng’abayigirizwa be bakaaba nga Laazaalo afudde. (Yok 11: 33-35) Okuva bwe kiri nti Yesu ayolekera ddala engeri za Kitaawe, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa naye awulira bubi bw’alaba nga tukaaba olw’okufiirwa abantu baffe. (Yok 14:7) Yakuwa yeesunga nnyo okuzuukiza abaweereza be, era naffe twesunga ekiseera ekyo.Yob 14:14, 15.

Okuva bwe kiri nti Yakuwa Katonda wa ntegeka, tuba batuufu okugamba nti n’okuzuukira kujja kubaawo mu ngeri entegeke obulungi. (1Ko 14:33, 40) Mu kifo ky’emikolo gy’okuziika, wayinza okubaawo embaga ez’okwaniriza abo abanaaba bazuukiziddwa. Otera okufumiitiriza ku kuzuukira, naddala ng’ofiiriddwa? (2Ko 4:17, 18) Weebaza Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo era n’okutuwa essuubi ery’okuzuukira?Bak 3:15.

  • Mikwano gyo ki oba baani ku b’eŋŋanda zo b’osinga okwagala okuddamu okulaba?

  • Bantu ki aboogerwako mu Bayibuli b’osinga okwagala okulaba n’okwogerako nabo?