Ababuulizi nga bagaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo mu Albania

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Maaki 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Omunaala gw’Omukuumi era n’okuyigiriza amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGA

“Ndi Wamu Naawe Okukulokola”

Yakuwa bwe yalonda Yeremiya okuba nnabbi, Yeremiya yawulira nga tasobola kukola mulimu ogwo. Yakuwa yamugumya atya?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Baalekera Awo Okukola Katonda by’Ayagala

Abayisirayiri baali balowooza nti ssaddaaka zaabwe zandibaletedde okusimiibwa Katonda wadde nga baali bakola ebintu ebibi. Yeremiya yayanika ebibi bye baali bakola n’obunnanfuusi bwabwe.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?

Kozesa brocuwa eno okuyamba abayizi okumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, okutegeera bye tukola, n’okutegeera ekibiina kya Yakuwa.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Abantu Beetaaga Obulagirizi bwa Katonda

Edda mu Isirayiri, abo abaagobereranga obulagirizi bwa Yakuwa baali basanyufu, baalina emirembe, era baali bulungi.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Wuliriza Katonda

Kozesa ebifaananyi n’ebyawandiikibwa okuyigiriza amazima agasookerwako abo abatamanyi bulungi kusoma.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Abayisirayiri Beerabira Yakuwa

Yakuwa Katonda yali ayigiriza ki Abayisirayiri bwe yagamba Yeremiya okutambula mayiro 300 okugenda ku Mugga Fulaati akweke omusipi?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yamba ab’Omu Maka Go Obuteerabira Yakuwa

Osobola okuyamba ab’omu maka go obuteerabira Yakuwa singa ossaawo enteekateeka ennungi ey’okusinza kw’amaka. Osobola otya okwaŋŋanga ebitera okukifuula ekizibu okuba n’okusinza kw’amaka?