Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?

Brocuwa Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? tusobola okugikozesa buli wiiki okuyigiriza omuyizi, nga tetunnatandika kumuyigiriza mu katabo k’aliko oba nga tumaze okumuyigiriza. * Amasomo 1-4 gayamba abayizi okumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, amasomo 5-14 gabayamba okutegeera bye tukola, ate amasomo 15-28 gabayamba okutegeera ekibiina kya Yakuwa. Kirungi okusoma amasomo nga bwe gaddiriŋŋana. Kyokka, oyinza okusoma n’omuyizi essomo lyonna okusinziira ku bwetaavu obubaawo. Buli ssomo liri ku lupapula lumu, era muyinza okulikubaganyaako ebirowoozo okumala eddakiika eziri wakati w’ettaano n’ekkumi.

  • Laga omuyizi ekibuuzo ekiri ku ntandikwa y’essomo

  • Muyinza okusoma essomo lyonna, oba okusoma akatundu kamu kamu

  • Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bye musomye. Kozesa ebibuuzo ebiri ku nkomerero y’essomo awamu n’ebifaananyi. Musome ebyawandiikibwa ebituukirawo era mubikubaganyeeko ebirowoozo. Laga omuyizi engeri ebigambo ebiri mu nnukuta enkwafu gye biddamu ekibuuzo ekiri ku ntandikwa y’essomo

  • Essomo bwe libaamu akasanduuko akalina omutwe, “Manya Ebisingawo” mukasome era okubirize omuyizi okukolera ku ebyo ebikalimu

^ lup. 3 Brocuwa eri ku mukutu gwaffe yakyusibwamuko.