Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Wuliriza Katonda

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Wuliriza Katonda

Brocuwa Wuliriza Katonda yategekebwa okuyamba abantu abatasobola kusoma bulungi. Buli ssomo liri ku mpapula bbiri era erimu ebifaananyi n’obubonero obusonga ku kifaananyi ekiba kiddako.

Brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna erimu ebifaananyi bye bimu n’ebyo ebiri mu Wuliriza Katonda, naye yo erimu ebigambo bingiko, era abayizi abasobola okusoma bayinza okugikozesa. Omubuulizi asobola okugikozesa ng’ayigiriza omuyizi brocuwa Wuliriza Katonda. Ku mpapula ezisinga obungi kuliko ebirala bye basobola okukubaganyaako ebirowoozo okusinziira ku busobozi bw’omuyizi.

Brocuwa eyo tusobola okugiwa abantu mu buweereza ekiseera kyonna ne bwe tuba nga si gye tugaba omwezi ogwo. Bw’oba oyigiriza omuntu, kozesa ebifaananyi ebiri mu brocuwa eyo okunnyonnyola ebiri mu Bayibuli. Buuza omuyizi ebibuuzo kikuyambe okumanya obanga by’ayiga abitegeera. Musome ebyawandiikibwa ebiri ku nkomerero ya buli lupapula era mubikubaganyeeko ebirowoozo. Bwe mumalako brocuwa eyo, kozesa akatabo Kiki Ddala Bayibuli Ky’Eyigiriza oba Biki bye Tuyiga mu Bayibuli, kimuyambe okukulaakulana.