Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yamba ab’Omu Maka Go Obuteerabira Yakuwa

Yamba ab’Omu Maka Go Obuteerabira Yakuwa

Yakuwa yatuma Yeremiya okulabula Abayisirayiri nti baali bagenda kubonerezebwa olw’okuba baali bamwerabidde. (Yer 13:25) Kiki ekyaleetera eggwanga eryo okuddirira mu by’omwoyo? Embeera ey’eby’omwoyo mu maka g’Abayisirayiri yali eyonoonese. Kirabika emitwe gy’amaka baali tebakyagoberera bulagirizi obuli mu Ekyamateeka 6:5-7.

Ne leero amaka bwe gaba amanywevu mu by’omwoyo, ebibiina nabyo biba binywevu. Emitwe gy’amaka bayinza okuyamba ab’omu maka gaabwe obuteerabira Yakuwa singa bassaawo enteekateeka ennungi ey’okusinza kw’amaka. (Zb 22:27) Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo erina omutwe, Ebigambo Bino . . . Binaabanga ku Mutima Gwo”—Okusinza kw’Amaka, muddeemu ebibuuzo bino:

  • Biki ebitera okukifuula ekizibu okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa, era abamu basobodde batya okubyaŋŋanga?

  • Birungi ki ebiva mu kubeera n’okusinza kw’amaka obutayosa?

  • Bwe kituuka ku kusinza kw’amaka, kusoomooza ki kwe nfuna, era nnaakola ki okukwaŋŋanga?