Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 6-12

YEREMIYA 1-4

Maaki 6-12
  • Oluyimba 23 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Ndi Wamu Naawe Okukulokola”: (Ddak. 10)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Yer 2:13, 18—Bintu ki ebibiri ebibi Abayisirayiri bye baakola? (w07 4/1 10 ¶1)

    • Yer 4:10—Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yalimba’ abantu be? (w07 4/1 9 ¶4)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yer 4:1-10

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 149

  • Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 7) Mulabe vidiyo erina omutwe Ebikolebwa Ekibiina, eya Maaki.

  • Kaweefube w’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Ajja Kutandika nga Maaki 18: (Ddak. 8) Okwogera okw’okuweebwa omulabirizi w’obuweereza, nga kwesigamiziddwa ku katabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Febwali 2016, olupapula 8. Buli omu muwe akapapula akayita abantu ku Kijjukizo, oluvannyuma oyogere ku ebyo ebikalimu. Bategeeze enteekateeka ey’okubugaba mu kitundu kye mubuuliramu.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 8 ¶11-18

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 93 n’Okusaba