Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 19-25

MATAYO 24

Maaki 19-25
  • Oluyimba 126 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo mu Nnaku Zino ez’Enkomerero”: (Ddak. 10)

    • Mat 24:12​—Olw’okweyongera kw’obujeemu, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola (it-2-E lup. 279 ¶6)

    • Mat 24:39​—Abantu abamu bajja kwemalira ku bintu ebya bulijjo kibaleetere obutafaayo (w99-E 11/15 lup. 19 ¶5)

    • Mat 24:44​—Mukama waffe ajja kujja mu kiseera kye tutamusuubiriramu (jy lup. 259 ¶5)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Mat 24:8​—Ebigambo bya Yesu ebiri mu lunyiriri luno biyinza kuba nga bitegeeza ki? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)

    • Mat 24:20​—Lwaki Yesu yayogera ebigambo bino? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 24:1-22

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe.

  • Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Gwe wasooka okubuulira taliiwo, naye omu ku b’eŋŋanda ze y’aliwo.

  • Okulaga Vidiyo ku Kuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO