Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 22-23

Gondera Amateeka Ababiri Agasinga Obukulu

Gondera Amateeka Ababiri Agasinga Obukulu

22:36-39

Ng’osinziira ku Matayo 22:36-39, wandiika ennamba ku nsonga zino wammanga ezikuleetera okugenda mu nkuŋŋaana, ng’otandika n’ensonga esinga obukulu:

  • Okuzzibwamu amaanyi

  • Okuzzaamu abalala amaanyi

  • Okusinza Yakuwa n’okulaga nti omwagala

Lwaki twandifubye okugenda mu nkuŋŋaana wadde nga tukooye nnyo era nga tuwulira nti tetujja kuganyulwa?

Ngeri ki endala ze tusobola okulagamu nti tugondera amateeka abiri agasinga obukulu?