Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 26–Apuli 1

MATAYO 25

Maaki 26–Apuli 1
  • Oluyimba 143 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Mubeere Bulindaala”: (Ddak. 10)

    • Mat 25:1-6​—Abawala ab’amagezi bataano n’abasirusiru bataano baagenda okwaniriza omugole omusajja

    • Mat 25:7-10​—Omugole omusajja we yatuukira, abawala abasirusiru tebaaliwo

    • Mat 25:11, 12​—Abawala ab’amagezi bokka be bakkirizibwa okugenda ku mbaga ey’obugole

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Mat 25:31-33​—Olugero olukwata ku ndiga n’embuzi lulina makulu ki? (w15 3/15 lup. 27 ¶7)

    • Mat 25:40​—Tuyinza tutya okulaga nti twagala baganda ba Kristo? (w09 10/15 lup. 16 ¶16-18)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 25:1-23

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ku mukolo gw’Ekijjukizo.

  • Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Weerondere ekyawandiikibwa eky’okukozesa, era omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.

  • Okwogera: (Ddak. 6 oba obutawera) w15 3/15 lup. 27 ¶7-10​—Omutwe: Olugero Olukwata ku Ndiga n’Embuzi Lulaga Lutya nti Omulimu gw’Okubuulira Mukulu Nnyo?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 85

  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okuyigiriza Abayizi Baffe Okutegeka”: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Oluvannyuma, mulabe vidiyo eraga omubuulizi ng’ayigiriza omuyizi we okutegeka, era mugikubaganyeeko ebirowoozo. Saba abawuliriza boogera ku ngeri gye basobodde okuyamba abayizi baabwe okutegeka ebyo bye bagenda okuyiga.

  • Yaniriza Abagenyi Baffe: (Ddak. 5) Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitundu ekiri mu katabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Maaki 2016. Yogera ku byokulabirako ebirungi bye mwafuna mu kiseera ky’Ekijjukizo ekya 2017. Babuulire enteekateeka ezikwata ku w’okusimba ebidduka, aw’okuyingirira n’aw’okufulumira, n’ebirala, ebikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo ogujja okubaawo nga Maaki 31.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 14

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 79 n’Okusaba