Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 25

“Mubeere Bulindaala”

“Mubeere Bulindaala”

25:1-12

Wadde ng’olugero olukwata ku bawala ekkumi lusinga kukwata ku bagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta, eby’okuyiga ebirimu bikwata ku Bakristaayo bonna. (w15 3/15 lup. 12-16) “N’olwekyo, mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.” (Mat 25:13) Osobola okunnyonnyola olugero lwa Yesu olwo?

  • Omugole omusajja (luny. 1)​—Yesu

  • Abawala ab’amagezi abaali beeteeseteese (luny. 2)​—Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeetegefu okukola omulimu ogwabaweebwa n’obwesigwa, era n’okweyongera okwaka ng’ettaala okutuuka ku nkomerero (Baf 2:15)

  • Okwogerera waggulu nti: “Omugole omusajja wuuno ajja!” (luny. 6)​—Ebiraga okubeerawo kwa Yesu

  • Abawala abasirusiru (luny. 8)​—Abakristaayo abaafukibwako amafuta abagenda okwaniriza omugole omusajja, kyokka ne batabeera bulindaala era ne batakuuma bugolokofu bwabwe

  • Abawala ab’amagezi bagaana okugaba amafuta gaabwe (luny. 9)​—Oluvannyuma lw’okuteekebwako akabonero akasembayo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa bajja kuba tebakyasobola kuyamba abo abatali beesigwa

  • “Omugole omusajja n’atuuka” (luny. 10)​—Yesu ajja kujja okusala omusango ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako

  • Abawala ab’amagezi ne bayingira n’omugole omusajja awali embaga, era oluggi ne luggalwawo (luny. 10)​—Yesu atwala Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa mu ggulu, naye abatali beesigwa ne bafiirwa empeera yaabwe