OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza Abayizi Baffe Okutegeka
LWAKI KIKULU?: Abayizi bwe bategeka bye bagenda okuyiga, baba basobola okubitegeera obulungi era n’okubijjukira. Bye bayiga bwe babitegeera obulungi era ne babijjukira, bakulaakulana mangu mu by’omwoyo. Ne bwe baba bamaze okubatizibwa, baba bakyetaaga okweyongera okwetegekera enkuŋŋaana n’obuweereza, basobole okusigala nga bali “bulindaala.” (Mat 25:13) Bwe bamanya engeri y’okwesomesaamu era ne baba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa, kibayamba obulamu bwabwe bwonna. N’olwekyo okuviira ddala ku ntandikwa, tusaanidde okuyamba abayizi baffe okwemanyiiza okutegeka.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Muteerewo ekyokulabirako ekirungi. (Bar 2:21) Weetegekere buli muyizi gw’ogenda okusomesa. (km 11/15 lup. 3) Mulage akatabo ko k’otegese
-
Mukubirize okutegeka. Ng’afuuse omuyizi, mutegeeze nti okuyiga Bayibuli kuzingiramu okutegeka, era omubuulire n’emiganyulo egiri mu kutegeka. Muwe amagezi ku ngeri gy’asobola okufunamu ebiseera eby’okutegekeramu. Ababuulizi abamu bwe baba bayigiriza abayizi, babawa akatabo kaabwe ke bategese ne kiyamba abayizi okulaba emiganyulo egiri mu kutegeka. Omuyizi bw’ategeka, musiime
-
Mu ngeri y’okutegeka. Ababuulizi abamu bwe baba baakatandika okuyigiriza omuntu, bategekera wamu naye