Maaki 11-17
ABARUUMI 15-16
Oluyimba 33 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Asobola Okukubudaabuda n’Okukuyamba Okugumiikiriza”: (Ddak. 10)
Bar 15:4—Soma Ekigambo kya Katonda osobole okubudaabudibwa (w17.07 lup. 14 ¶11)
Bar 15:5—Weegayirire Yakuwa akuyambe ‘okugumiikiriza era akubudeebude’ (w16.04 lup. 14 ¶5)
Bar 15:13—Yakuwa atuwa essuubi (w14 6/15 lup. 14 ¶11)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bar 15:27—Mu ngeri ki Abakristaayo ab’Amawanga gye baalina “ebbanja” eri Abakristaayo ab’omu Yerusaalemi? (w89-E 12/1 lup. 24 ¶3)
Bar 16:25—“Ekyama ekitukuvu ekibadde kikwekeddwa okuva edda n’edda” kye ki? (it-1-E lup. 858 ¶5)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bar 15:1-16 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 10)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 11)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri Yakuwa gy’Atuyambamu Okugumiikiriza n’Engeri gy’Atubudaabudamu: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Biki by’oyize ku ngeri gye tubudaabudibwamu?
Biki by’oyize ku kubudaabuda abalala?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 58
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 34 n’Okusaba