Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ebbaluwa ey’Okulabirako

Ebbaluwa ey’Okulabirako
  • Kozesa endagiriro yo yennyini. Bw’oba tosobola kukozesa ndagiriro yo, oyinza okukozesa endagiriro y’Ekizimbe ky’Obwakabaka abakadde bwe baba nga bakukkiriza okugikozesa. Naye TOKOZESA ndagiriro y’ofiisi y’ettabi.

  • Kozesa erinnya ly’omuntu gw’owandiikira bw’oba ng’olimanyi. Ekyo kijja kumuyamba obutalowooza nti olina ebyamaguzi by’olanga.

  • Ebigambo biwandiike bulungi, goberera amateeka agafuga olulimi, era kozesa bulungi obubonero obukozesebwa mu kuwandiika. Ebbaluwa esaanidde okuba ng’erabika bulungi. Bw’okozesa omukono okuwandiika, esaanidde okuba nga nnyangu okusoma. Tokozesa bigambo ebizibu okutegeera.

Ebbaluwa eno ey’okulabirako eraga ensonga ezo. Tosaanidde kugikoppa kigambo ku kigambo buli lw’oba ng’olina gw’owandiikira. Ebbaluwa yo giwandiike okusinziira ku kigendererwa kyayo, embeera n’obuwangwa bw’ekitundu.