Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okuwandiika Amabaluwa Amalungi

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okuwandiika Amabaluwa Amalungi

LWAKI KIKULU?: Ekitabo kya 1 Abakkolinso kye kimu ku mabaluwa 14 omutume Pawulo ge yawandiika okuzzaamu Bakristaayo banne amaanyi. Oyo awandiika ebbaluwa aba n’obudde okulonda ebigambo n’obwegendereza, era oyo gwe bagiwandiikidde asobola okugisoma enfunda n’enfunda. Okuwandiika amabaluwa ngeri nnungi ey’okubuulira ab’eŋŋanda n’emikwano. Ate era tusobola okukozesa enkola eyo okubuulira abo be tutasobola kwogera nabo butereevu. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okusiima obubaka bwaffe naye nga kizibu okumusanga awaka. Abantu abamu abali mu kitundu kyaffe tuyinza okuzibuwalirwa okubabuulira olw’okuba bali mu bizimbe ebikuumibwa ennyo, mu bizimbe ebiri mu bikomera, oba nga bali mu bitundu ebyesudde. Biki bye tusaanidde okulowoozaako, nnaddala nga tuwandiikira omuntu gwe tutamanyi?

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Kozesa ebigambo bye wandikozesezza ng’oyogera n’omuntu butereevu. Ku ntandikwa y’ebbaluwa, weeyanjule era olage bulungi ensonga lwaki ogiwandiise. Oluvannyuma oyinza okuwandiika ekibuuzo ky’oyagala omuntu alowoozeeko era n’omulagirira ku mukutu gwaffe. Mubuulire ku by’Okuyiga Okuva mu Bayibuli Ebiri ku Mukutu Gwaffe (Online Bible Study Lessons), oba ku nteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli, era omubuulire egimu ku mitwe egiri mu kamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Mu bbaluwa oyinza okumuteeramu kaadi eragirira abantu ku jw.org, akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana, oba tulakiti

  • Ba mu bufunze. Ebbaluwa yo tesaanidde kuba mpanvu nnyo kubanga oyo gw’ogiwandiikidde ayinza okukoowa okugisoma nga tannagimalako.—Laba ebbaluwa ey’okulabirako

  • Gisomeemu okakase nti teriimu nsobi, nnyangu okusoma, era nti ezzaamu amaanyi. Kakasa nti osasula ssente ezimala ez’okugiweereza n’okugiggyayo