Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 ABAKKOLINSO 1-3

Oli Muntu ow’Omubiri oba ow’eby’Omwoyo?

Oli Muntu ow’Omubiri oba ow’eby’Omwoyo?

2:14-16

Buli omu ku ffe yeetaaga okufuba okuba omuntu ow’eby’omwoyo era n’okweyongera okukulaakulana. (Bef 4:23, 24) Okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo, tulina okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa, okussaawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, era n’okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo.

Embeera yo eri etya mu by’omwoyo bw’ogeraageranya ku bwe wali omwaka gumu emabega, emyaka kkumi emabega, oba nga waakabatizibwa?