Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yigiriza Abayizi Bo ng’Okozesa Vidiyo

Yigiriza Abayizi Bo ng’Okozesa Vidiyo

Ebintu ebirabwako biyamba omuntu okussaayo omwoyo ku by’ayiga, n’asobola okubitegeera n’okubijjukira. Yakuwa, Omuyigiriza waffe asingiridde, yakozesa ebintu ebirabwako ng’ayigiriza. (Lub 15:5; Yer 18:1-6) Ate era ne Yesu, Omuyigiriza Omukulu, yabikozesa. (Mat 18:2-6; 22:19-21) Ebimu ku bintu ebirabwako eby’omuganyulo ennyo ennaku zino ze vidiyo. Okozesa vidiyo ng’oyigiriza abayizi bo?

Vidiyo kkumi zaategekebwa okutuyamba nga tuyigiriza omuntu brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Okutwalira awamu, buli vidiyo ekwatagana n’ekimu ku bibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu ebiri mu brocuwa eyo. Brocuwa eri ku mukutu gwaffe erimu link ezitujjukiza ddi lwe tulina okulaga buli vidiyo. Okugatta ku ekyo, waliwo vidiyo endala ezikwatagana n’amasomo agali mu bitabo ebirala bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.

Mwogera ku nsonga eyinza okuzibuwalira omuyizi wo okutegeera? Omuyizi wo alina ekizibu ky’ayolekagana nakyo? Noonya vidiyo esobola okumuyamba ku jw.org® ne ku JW Broadcasting®. Oboolyawo muyinza okulaba emu ku zo oluvannyuma ne mugikubaganyaako ebirowoozo.

Buli mwezi, wabaawo vidiyo empya ezifulumizibwa. Bw’oba oziraba lowooza ku ngeri gy’oyinza okuzikozesaamu ng’oyigiriza abalala.