Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABARUUMI 12-14

Tuyinza Tutya Okwoleka Okwagala Okwa Nnamaddala

Tuyinza Tutya Okwoleka Okwagala Okwa Nnamaddala

12:10, 17-21

Omuntu bw’atuyisa obubi, bwe tuba n’okwagala okwa nnamaddala, tetujja kukoma ku buteesasuza naye era tujja kulaga omuntu oyo ekisa. “Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe eky’okulya; bw’aba alumwa ennyonta muwe eky’okunywa; kubanga bw’okola bw’otyo ojja kuba otuuma amanda agaaka ku mutwe gwe.” (Bar 12:20) Bwe tulaga omuntu atuyisizza obubi ekisa, kiyinza okumukwatako n’alaba nti ky’akoze kibi.

Wawulira otya omuntu gwe wanyiiza mu butali bugenderevu bwe yakusonyiwa?