Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 16-22

OLUBEREBERYE 25-26

Maaki 16-22

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Esawu Atunda Omugabo Gwe ogw’Omwana Omubereberye”: (Ddak. 10)

    • Lub 25:27, 28—Esawu ne Yakobo baali balongo, naye nga balina engeri za njawulo era nga ne bye banyumirwa okukola bya njawulo (it-1-E lup. 1242)

    • Lub 25:29, 30—Esawu yakkiriza enjala n’obukoowu okumuleetera obuteefuga

    • Lub 25:31-34—Esawu yayanguyiriza okutunda omugabo gwe ogw’omwana omubereberye olw’olulya lumu (w19.02 lup. 16 ¶11; it-1-E lup. 835)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • Lub 25:31-34—Lwaki ebiri mu nnyiriri zino tebiraga nti buli omu ku abo abaali mu lunyiriri Masiya mwe yava yalina kuba mwana mubereberye? (Beb 12:16; w17.12 lup. 15 ¶5-7)

    • Lub 26:7—Lwaki ku mulundi guno Isaaka teyayogera mazima gonna? (it-2-E lup. 245 ¶6)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 26:1-18 (th essomo 5)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, era oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Tuyinza tutya okwewala okuswaza nnyinimu bw’aba tamanyi kya kuddamu mu kibuuzo kye tuba tumubuuzizza? Omubuulizi annyonnyodde atya obulungi Matayo 20:28?

  • Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 4 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 3)

  • Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe akatabo, Bye Tuyiga. (th essomo 15)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO