Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 23-29

OLUBEREBERYE 27-28

Maaki 23-29

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Yakobo Aweebwa Omukisa”: (Ddak. 10)

    • Lub 27:6-10—Lebbeeka yayamba Yakobo okufuna omukisa gwe yalina okuweebwa (w04-E 4/15 lup. 11 ¶4-5)

    • Lub 27:18, 19—Yakobo yaleetera kitaawe okulowooza nti ye Esawu (w07-E 10/1 lup. 31 ¶2-3)

    • Lub 27:27-29—Isaaka yawa Yakobo omukisa gwe yalina okuwa omwana omubereberye (it-1-E lup. 341 ¶6)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • Lub 27:46–28:2—Biki abafumbo bye bayiga mu ebyo ebiri mu nnyiriri zino? (w06 5/1 lup. 6 ¶3-4)

    • Lub 28:12, 13—Makulu ki agaali mu kirooto kya Yakobo ekikwata ku ‘madaala’? (w04 2/1 lup. 16 ¶6)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 27:1-23 (th essomo 2)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Omubuulizi akiraze atya nti abadde awuliriza nnyinimu ng’ayogera? Omubuulizi akozesezza atya obulungi ebyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli?

  • Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 6)

  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) jl essomo 17 (th essomo 11)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO