Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Bamuzibe

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Bamuzibe

LWAKI KIKULU: Bamuzibe bangi tekibanguyira kwogera na bantu be batamanyi. N’olwekyo, kyetaagisa okukozesa amagezi okusobola okubabuulira amawulire amalungi. Yakuwa afaayo ku bamuzibe era abaagala nnyo. (Lev 19:14) Tusobola okukoppa Yakuwa nga tufuba okuyamba bamuzibe okuyiga ebimukwatako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • ‘Noonya’ bamuzibe. (Mat 10:11) Olinayo omuntu gw’omanyi alina omu ku b’eŋŋanda ze nga muzibe? Ekitundu kye mubuuliramu kirimu essomero lya bamuzibe oba ekitongole ekiyamba bamuzibe oba ekifo we babalabiririra, abandyagadde ebitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe?

  • Balage nti obafaako. Bw’olaga muzibe nti omufaako kijja kumuleetera obutakwekengera. Gezaako okutandika okwogera nabo ku kintu ekiyinza okubakwatako.

  • Bayambe mu by’omwoyo. Ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebitabo ebisobola okuyamba bamuzibe oba abo abatalaba bulungi. Babuuze engeri gye bandyagadde okuyigirizibwamu. Omulabirizi w’obuweereza asaanidde okukakasa nti ow’oluganda akola ku bitabo alagiriza ebitabo bamuzibe oba abo abatalaba bulungi bye beetaaga.