Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 29-30

Yakobo Awasa

Yakobo Awasa

29:18-28

Yakobo teyamanya bizibu bye yandifunye oluvannyuma lw’okuwasa. Laakeeri ne Leeya, buli omu yalina obuggya bwa maanyi ku munne. (Lub 29:32; 30:1, 8) Wadde nga Yakobo yalina ebizibu, yakiraba nti Yakuwa yali naye. (Lub 30:29, 30, 43) Oluvannyuma, bazzukulu be baafuuka eggwanga lya Isirayiri.—Lus 4:11.

Leero, abo abasalawo okuwasa oba okufumbirwa bajja kufuna okusoomoozebwa okutali kumu. (1Ko 7:28) Wadde kiri kityo, basobola okuba abasanyufu mu bufumbo bwabwe singa beesiga Yakuwa era ne bakolera ku misingi egiri mu Bayibuli.—Nge 3:5, 6; Bef 5:33.