Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 9-15

OLUBEREBERYE 24

Maaki 9-15

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Okufunira Isaaka Omukazi”: (Ddak. 10)

    • Lub 24:2-4—Ibulayimu yatuma omuweereza we okufunira Isaaka omukazi mu bantu abaali basinza Yakuwa (wp16.3 lup. 14 ¶3)

    • Lub 24:11-15—Omuweereza wa Ibulayimu yasanga Lebbeeka ku luzzi (wp16.3 lup. 14 ¶4)

    • Lub 24:58, 67—Lebbeeka yakkiriza okufumbirwa Isaaka (wp16.3 lup. 14 ¶6-7)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • Lub 24:19, 20—Biki bye tuyigira ku ebyo Lebbeeka bye yakola ebyogerwako mu nnyiriri zino? (wp16.3 lup. 12-13)

    • Lub 24:65—Lwaki Lebbeeka yabikka ku mutwe gwe, era tukiyigirako ki? (wp16.3 lup. 15 ¶3)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 24:1-21 (th essomo 2)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, era oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Omubuulizi akozesezza atya obulungi ebibuuzo? Omubuulizi azzeemu atya, nnyinimu bw’ayogedde ekitali kituufu ku Yesu?

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 12)

  • Okuyita Abantu ku Kijjukizo: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Nnyinimu alaze okusiima. Beera ng’amulaga vidiyo, Okujjukira Okufa kwa Yesu, era oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 11)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 25

  • Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Ajja Kutandika ku Lwomukaaga nga Maaki 14: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Buli omu muwe akapapula akayita abantu ku kijjukizo era oyogere ku bikalimu. Mulabe vidiyo eraga ennyanjula y’akapapula ako era mugikubaganyeeko ebirowoozo. Bategeeze enteekateeka ezikoleddwa okugaba obupapula obwo mu kitundu kyammwe.

  • Ani Gwe Nnaayita?”: (Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 107

  • Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)

  • Oluyimba 9 n’Okusaba