Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ani Gwe Nnaayita?

Ani Gwe Nnaayita?

Buli mwaka twenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu. Abasinga obungi ku bo tuba tetubamanyi. Kyokka, tusaanidde n’okuyita abo be tumanyi. Omuntu ayanguyirwa okugenda ku mukolo singa aba amanyi oyo amuyise. (yb08-E lup. 11 ¶3; lup. 14 ¶1) Baani b’oyinza okuyita?

  • Ab’eŋŋanda zo

  • B’okola nabo oba b’osoma nabo

  • Baliraanwa bo

  • Abo b’oddiŋŋana, b’oyigiriza Bayibuli, era n’abo abaaliko abayizi bo aba Bayibuli

Ate era abakadde basobola okuyita abo abatakyajja mu nkuŋŋaana. Watya singa waliwo omuntu gw’omanyi naye nga tabeera mu kitundu kyo? Okusobola okumanya ekiseera n’ekifo omukolo ogwo we gunaabeera mu kitundu kye, genda ku jw.org mu EBITUKWATAKO, oluvannyuma ogende ku “Okujjukira Okufa kwa Yesu.” Nga weeteekerateekera omukolo gw’ekijjukizo ogw’omwaka guno, lowooza ku abo b’osobola okuyita era obayite.