Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Londa Emikwano n’Amagezi

Londa Emikwano n’Amagezi

Abakristaayo balina kye bayigira ku ekyo ekyatuuka ku Bayisirayiri mu ddungu lya Mowaabu. (1Ko 10:6, 8, 11) Abayisirayiri abaatandika okukolagana n’abakazi Abamowaabu abagwenyufu era abasinza ebifaananyi baasendebwasendebwa ne kibaleetera okukola ebibi eby’amaanyi. Ebyavaamu tebyali birungi n’akamu. (Kbl 25:9) Tubeera n’abantu abatasinza Yakuwa gamba nga bakozi bannaffe, abo be tusoma nabo, baliraanwa baffe, ab’eŋŋanda zaffe, n’abantu abalala. Bwe tulowooza ku ebyo ebyatuuka ku Bayisirayiri, kabi ki akali mu kuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu ng’abo?

MULABE EKITUNDU EKYAGGIBWA MU VIDIYO, EBYALIWO EDDA EBITULABULA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ndowooza ki enkyamu Zimuli ne banne gye baayoleka bwe baali boogera ne Yamini?

  • Finekaasi yayamba atya Yamini okutunuulira ensonga mu ngeri entuufu?

  • Njawulo ki eriwo wakati w’okukolagana obulungi n’abantu abatali bakkiriza n’okubafuula mikwano gyaffe?

  • Lwaki tusaanidde okwegendereza nga tulonda abo be tufuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere ka babe abo abali mu kibiina?

  • Lwaki tusaanidde okwewala okukolagana n’abantu be tutamanyi ku mikutu emigattabantu?