Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekifaananyi ekiri kungulu: Peetero ne Yokaana nga bateekateeka ekisenge ekya waggulu eky’okuliiramu Okuyitako mu 33 E.E.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeteekerateekera Omukolo gw’Ekijjukizo?

Weeteekerateekera Omukolo gw’Ekijjukizo?

Okuyitako Yesu kwe yali agenda okusembayo okukwata kwali kugenda kuba kukulu nnyo. Olw’okuba yali anaatera okufa, yateekateeka okulya Okuyitako ng’ali wamu n’abatume be era n’okutandikawo omukolo omupya ogwandikwatiddwa buli mwaka, nga kye ky’Ekiro kya Mukama Waffe. Bwe kityo, yatuma Peetero ne Yokaana okugenda okuteekateeka ekisenge mwe baandikwatidde omukolo ogwo. (Luk 22:7-13; laba ekifaananyi ekiri kungulu.) Ekyo kitujjukiza nti tulina okweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo ogujja okubaawo nga Maaki 27. Oboolyawo ebibiina bikoze enteekateeka okufuna omwogezi, omugaati n’envinnyo, n’ebirala. Naye, kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okukola okusobola okweteekerateekera omukolo ogwo?

Teekateeka omutima gwo. Soma era ofumiitirize ku Byawandiikibwa ebituweebwa okusoma mu kiseera ky’Ekijjukizo. Enteekateeka eyo osobola okugisanga mu katabo, Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Ekitundu ebyongerezeddwako B12 ekisangibwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya kirimu enteekateeka enneneko. (Era laba akatabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Apuli 2020.) Ab’omu maka basobola okufuna eby’okukozesa mu kusinza kw’amaka ebyogera ku kinunulo mu Kitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza.

Yita abalala. Weenyigire mu bujjuvu mu kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo. Lowooza ku abo b’osobola okuyita, gamba ng’abo b’oddiŋŋana, be wayigirizaako Bayibuli, mikwano gyo, n’ab’eŋŋanda zo. Abakadde basaanidde okuyita abo abatakyajja mu nkuŋŋaana. Omuntu bw’aba tabeera mu kitundu kyo, osobola okumanya ekiseera n’ekifo omukolo gw’Ekijjukizo we gunaabeera mu kitundu kye ng’ogenda ku kitundu EBITUKWATAKO ekiri ku jw.org/lg, oluvannyuma genda ku kitundu “Okujjukira Okufa kwa Yesu.”

Biki ebirala bye tuyinza okukola okusobola okweteekateeka?