Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tokoppa Abo Abatali Beesigwa

Tokoppa Abo Abatali Beesigwa

Koola, Dasani, ne Abiraamu baalaga nti si beesigwa eri Yakuwa bwe baajeemera enteekateeka ye. Yakuwa yazikiriza abajeemu abo awamu n’abo bonna abaali babawagira. (Kbl 16:26, 27, 31-33) Mbeera ki eziyinza okugezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa? Byakulabirako ki ebiri mu Bayibuli ebiyinza okutuyamba obutakoppa abo abatali beesigwa?

MULABE VIDIYO, TOKOPPA ABO ABATAALI BEESIGWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Mbeera ki eyagezesa Nadia, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?

  • Mbeera ki eyagezesa ow’oluganda eyali aweddemu amaanyi, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?

  • Mbeera ki eyagezesa Tomasi, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?

  • Mbeera ki eyagezesa ow’oluganda ng’ali ku ssomero, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?