Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Weewale Amalala n’Okwekakasa Ekisukkiridde

Weewale Amalala n’Okwekakasa Ekisukkiridde

Koola yagaana okugoberera enteekateeka ya Yakuwa olw’okuba yafuna amalala era nga yeekakasa ekisukkiridde (Kbl 16:1-3; w11 9/15 lup. 27 ¶12)

Koola yali Muleevi eyali assibwamu ekitiibwa era ng’alina enkizo nnyingi (Kbl 16:8-10; w11 9/15 lup. 27 ¶11)

Endowooza enkyamu Koola gye yalina yavaamu ebizibu (Kbl 16:32, 35)

Tetusaanidde kukkiriza ebyo bye tutuuseeko mu buweereza bwaffe eri Yakuwa kutuleera kufuna malala era n’okwekakasa ekisukkiridde. Kikulu nnyo okuba abawombeefu nnaddala bwe tuba nga tumaze emyaka mingi mu mazima oba nga tulina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi.