BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Bye Tuyinza Okwogerako mu Buweereza
Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo (Maaki 19–Apuli 15)
“Tukuyita okubaawo ku mukolo omukulu ennyo ogujja okubaako abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna. Omukolo ogwo gwe gw’okujjukira okufa kwa Yesu.” Muwe [oba muweereze] akapapula akamuyita. “Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo omukolo ogwo we gunaabeera mu kitundu kyaffe [oba engeri gy’osobola okweyunga ku mukolo ogwo okuyitira ku Intaneeti]. Ate era tukwaniriza ku kwogera okw’enjawulo okujja okubaawo nga Apuli 4, 2022.”
Omuntu bw’Alaga Okusiima: Mulage [oba muweereze] vidiyo, Okujjukira Okufa kwa Yesu.
Eky’okulekawo: Lwaki Yesu yafa?