OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebizibu ka Bibe Bya Ngeri Ki, Ekiseera Kituuka ne Bikoma
Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, kyangu okuggwamu amaanyi naddala singa bimala ekiseera kiwanvu. Dawudi yali akimanyi nti ebizibu bye yali ayolekagana nabyo olwa Sawulo okumuyigganya, ekiseera kyandituuse ne bikoma era n’aba Kabaka nga Yakuwa bwe yasuubiza. (1Sa 16:13) Okukkiriza Dawudi kwe yalina kwamuyamba okuba omugumiikiriza n’okulindirira Yakuwa.
Bwe tuba nga twolekana n’ebizibu, tuyinza okukozesa amagezi, okumanya, n’obusobozi bw’okulowooza okutereeza embeera. (1Sa 21:12-14; Nge 1:4) Kyokka, ebizibu ebimu biyinza obutavaawo ne bwe tuba nga tukoze kyonna kye tusobola okubigonjoola nga tukozesa emisingi gya Bayibuli. Mu mbeera ng’eyo, tulina okuba abagumiikiriza n’okulindirira Yakuwa. Mu kiseera ekitali kya wala, aggya kumalawo okubonaabona kwonna kwe twolekagana nakwo era aggya “kusangula amaziga” mu maaso gaffe. (Kub 21:4) Ka kibe nti obuweerero bwe tufuna, tubufuna olw’okuba Yakuwa aba alina ky’akozeewo oba olw’ensonga endala, ekituufu kiri nti ebizibu ka bibe bya ngeri ki ekiseera kituuka ne bikoma. Ekyo bwe tukijjukira kituyamba okufuna obuweerero.
MULABE VIDIYO, ABANTU ABALI OBUMU MU NSI ERIMU ENJAWUKANA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Bizibu ki ab’oluganda abamu mu kitundu ekimu eky’Amerika bye baayolekagana nabyo?
-
Baayoleka batya obugumiikiriza n’okwagala?
-
Beeyongera batya okwemalira ku ‘bintu ebisinga obukulu’?—Baf. 1:10