Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Okola Ebintu nga Tosoose Kulowooza?

Okola Ebintu nga Tosoose Kulowooza?

Dawudi yasaba obuyambi, naye Nabbali n’amuvuma (1Sa 25:7-11; ia lup. 78 ¶10-12)

Nga tasoose kulowooza, Dawudi yateekateeka okugenda okutta Nabbali awamu n’abasajja bonna ab’omu nnyumba ye (1Sa 25:13, 21, 22)

Abbigayiri yayamba Dawudi okwewala okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi (1Sa 25:25, 26, 32, 33; ia lup. 80 ¶18)

WEEBUUZE: ‘Ntera okukola ebintu nga sisoose kulowooza bwe mba nga ndi munyiivu, nga ndiko bye ngula, oba nga mpeddemu amaanyi? Oba nsooka ne nsiriikiriramu ne ndowooza ku biyinza okuva mu ekyo kye mba ndowooza okukola?’​—Nge 15:28; 22:3.