Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa

Yakuwa ayagala abantu bamuweereze olw’okuba bamwagala. (Mat 22:37, 38) Okwagala Katonda kwe kuleetera omuyizi wa Bayibuli okukola enkyukakyuka n’okusigala nga mwesigwa ng’agezesebwa. (1Yo 5:3) Era okwagala Katonda kwe kukubiriza omuyizi okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa.

Yamba abayizi bo okukiraba nti Yakuwa abaagala. Babuuze ebibuuzo nga bino: “Kino kikuyigiriza ki ku Yakuwa?” oba “Kino kiraga kitya nti Yakuwa akwagala?” Bayambe okulaba engeri Yakuwa gy’abayambyemu ng’abantu kinnoomu. (2By 16:9) Babuulire ku ngeri Yakuwa gy’azzeemu essaala zo, era bakubirize okwetegereza engeri Yakuwa gy’addamu essaala zaabwe. Abayizi baffe bwe batandika okukiraba nti Yakuwa abaagala era nabo ne bakiraga nti bamwagala era nti baagala okuba mikwano gye, kituleetera essanyu lingi nnyo.

MULABE VIDIYO, YAMBA OMUYIZI WO OWA BAYIBULI OKUBA N’ENKOLAGANA ENNUNGI NE YAKUWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kizibu ki Shanita kye yalina?

  • Anita yamuyamba atya?

  • Kiki ekyayamba Shanita okuvvuunuka ekizibu kye yalina?